Nkuluze Royal Treasury

Kabaka’s Bitrhday Run 2025

Katikkiro wa Buganda, Oweek. Charles Peter Mayiga atongozza emisinde gy’Amazaalibwa ga Kabaka 2025.

Ssaabasajja Kabaka agenda kuweza emyaka 70 egy’Ekitiibwa nga 13 Kafuumuulampawu 2025. Twebaza omuyinza wa byonna olw’okukuuma Beene emyaka 70.

Emisinde gino gyakuddukibwa nga 6 Kafuumuulampawu 2025, wansi w’Omulamwa gw’okulwanyisa Mukenenya: era abaddusi baakusimbulwa mu Lubiri e Mengo. Tukubirizibwa ffenna okulwanyisa ekirwadde kino ekya mukenenya ate n’okuwa essuubi abo abaweddemu essuubi.